Amawulire

DFCU banka yeddizza Global Trust- ebadde tekola magoba

Ali Mivule

July 25th, 2014

No comments

Global Trust B

Banka ya DFCU emaze okweddiza banka ya Global Trust

Kiddiridde banka y’eggwanga okulangirira nga bw’eggadde banka eno kubanga ebadde ekola esala era ebadde yakatta obuwumbi 60 bukyanga etandikibwaawo.

Gavana wa banka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti abantu ababadde bakozesa banka eno kati bakusobola okukozesa akawunta zaabwe okuva ssabbiiti ejja nga bakozesa DFCU.

Bbo abalina amabanja mu Global Trust baakusigala nga bagasasula okuyita mu DFCU kyokka nga bbo abakozi ba Global Trust bonna bagobeddwa.

Omwogezi wa banka eno Edward Tenywa agambye nti bafubye okukwatizaako banka eno naye nga bigaanye era nga babadde balina okukuuma ensimbi z’abantu abatereka mu banka eno.

Okuggala banka eno kuzze nga wakayita emyezi 2 gyokka nga banka ezamaanyi zimaze okutegeeza ng’embeera bw’eri embi nga tezikyakola magoba

Global trust yeemu ku banka omukaaga ezibadde zikola obubi

Wakati w’omwaka 1990 ne 2000, banka munaana zeezagaana okukola obulungi ekyawaliriza gavumenti okuziyambako kyokka ng’ezimu era ebintu byagaana

Banka eyasemba okuggalwa yali ya National Bank of Commerce, UCB eyagulibwa Stanbic , Nile Bank eyatwalibwa Barclays and nga Greenland ne Cooperative Bank nazo zaggalwa