Amawulire

Gibadde miranga nabiwombe ngómulambo gwa Ssabasumba Lwanga gutuuka Entebbe

Gibadde miranga nabiwombe ngómulambo gwa Ssabasumba Lwanga gutuuka Entebbe

Ivan Ssenabulya

September 18th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Gibadde miranga na biwombe ngómulambo gwabadde Ssabasumba we kanisa ya basodookisi mu ggwanga metropolitan Yonna Lwanga gutuuka ku kisaawe entebe.

Ssabasumba Lwanga yafa kuntandikwa yómwezi guno nga yafiira mu ggwanga lya Buyonaani gyeyali agenze okujanjabibwa ekirwadde kya kokolo.

Okufa kwe kulese eddibu ddene nyo mu kanisa ya basodookisi, nga bangi bamwogeddeko ngomusajja abadde omuwereza owamazima ate ayagala enyo abantu ne nsi ye.

Ono ajjukirwako nyo mu kuyimirirawo nalwanirira ebikolwa ebyokutyoboola eddembe lyobuntu nokuvumiriranga enguzi mu gavumenti gyayamba nti ye kuumidde Uganda emabega.

Wakubaawo okusabira omwoyo gwomugenzi ku lutiko e Namungoona olunaku olwaleero ne nkya ate ku lunaku olwebbalaza aziikibwe ku kanisa eno.