Amawulire

Ggoobi asabye ekirongole ekiwooza kyómusolo mu kuwandiisa bizinensi

Ggoobi asabye ekirongole ekiwooza kyómusolo mu kuwandiisa bizinensi

Ivan Ssenabulya

February 16th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Omuwandiisi w’enkalakalira mu Minisitule y’ebyensimbi n’okutekeratekera eggwanga Ramathan Ggoobi asabye ekitongole ekivunanyizibwa okukuganya Omusolo gwe eggwanga ki Uganda Revenue Authority okusikiriza abantu bonna abali mubu Business obutonotono buwandikibwe nabo batandike okuwa omusolo, bw’eba nga gavumenti yakugenda mumaso nokugonjoola ebyetaago by’eggwanga.

Bino Ggoobi abyogeredde kigo bwabadde agulawo ttabamiruka wabakulira ebitongole ebisolooza omusolo mu mawanga g’obuvanjuba bw’Africa olwwomulundi ogwa 50th agenderedde okwekubamu tooci nokuwagana amagezi kungeri ki gyebayinza ogenda mumaaso nokukuganya omusolo mu kitundu ky’obuvanjuba bw’africa awatali kunyigiriza bannansi.

Bakamisona okuva mumawanga gannamukago bakannyiza nti kituufu eby’enfuna biri nwansi nnyo ensangi zino olw’ekimbe Kya Covid-19,naye basuubira nti mu banga ttono okuva kati ebyenfuna byakuyimuka olwo no buli ggwanga lisobole okukuganya omusolo oguliyimirizawo obulungi.

Akulira ekitongole ki Uganda Revenue Authority John Musinguzi asinzidde mulukugana luno nasaba bannayuganda okumanya obukulu bw’okuwa omusolo, kuba mu mawanga gannamukago 6 Uganda tukyayimiridde bubbi nnyo ddala mukuwa omusolo.

Ku bantu obukadde 20 obuli mukisaawe kyemirimu kuliko abantu obukadde  3m-5m beebawa omusolo nga by’ebitundu 13%