Amawulire

Gen Muntu awandiisiddwa

Ali Mivule

July 2nd, 2015

No comments

Ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu awandiisiddwa okuvuganya kw’ani anakwatira ekibiina kya FDC bendera mu kalulu ka 2016.

Muntu agenda kuvuganya ne Dr Kiiza Besigye eyasusuddwa olw’eggulo.

Muntu asembeddwa ababaka okuli Angelina Osege,  Abdul Katuntu, ne Steven Ochola kko nabalala .

Amangu ddala nga yakawandiisibwa, Muntu  asabye banakibina kya FDC okumulonda asobole okumalawo ebizibu by’eggwanga omuli, Obwavu enguzi ebbula ly’emirimu n’ebirala.

Muntu yoomu asabye bannakibiina okwewala okulonda abakulembeze abatalina mazima wamu n’abo aboogera ebigambo ebisasamaza naye nga tebateeba.