Amawulire

Gen Mugisha Muntu akakasizza nga bwatagenda kudduka mu FDC.

Ivan Ssenabulya

November 29th, 2017

No comments

Bya Damalie Mukhaye.

 

 

Agava mu kibiina kya  FDC agavayo galaga nga abadde President w’ekibiina kya FDC Gen Mugisha Muntu bwakakasizza nga bwatagenda kuseguka okuva mu kibiina kya FDC nga abamu bwebabade balowooza.

Gen Muntu agamba nti okusinziira kubyava mukulonda kuno okwakagwa munne Patrick Amuriat mweyamuwangulira, bingi ebyavaayo, era nga bimuteeka mukifaanayi ekibbi dala, wabula  nga bino okubimalawo emboozi tegwana kubeewa wakatiiwe na gweyavugaya naye, wabula nabakulu bonna mu kibiina.

Muntu agamba nti obutakaanya nga buno tebuyinza kwewalika, wabula kyayagala kwekukulembeza omutima gw’ekibiina ne gwanga, sosi kwefaako nga omuntu.

Muntu agambye nti bangi abamutwala nga omuli wenkwe, wabula takyewuunya, kubanga abantu bangi abasalawo okwogera buli kyebaagala nga tebafudeeyo nakwebuza.

Kati ono agambye nti tagenda kusooka kumala gasalawo ku kyazaako, wabula agenda kusooka kwebuuza kubantu nadala banna FDC.