Amawulire

Gen Mugisha Muntu agenze kwebuza ku bantu-banna FDC bamwanukudde.

Ivan Ssenabulya

January 15th, 2018

No comments

 

Olunaku olw’aleero eyaliko omukulembeze w’ekibiina kya FDC Gen Mugisha Muntu bwatandise  kaweefube gweyalangira nga agamba nti ono wakwebuza kubannayunga  ku kyagenda okuzaako.

Kinajukirwa waaliwo akatuubagiro nga omukulu ono yakawangulwa kubwa president bw’ekibiina kya FDC, ekyaletera n’abantu okulowooza nti yandiduka mu kibiina, kyoka nabategeeza nti okulangirira kyazaako asooka kwebuza ku banna- FDC mu uganda yonna

Ono mungeri yeemu agamba nti era bagenda nakwebuza ku nsonga y’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga.

Wabula bo abakulu mu kibiina kya  FDC bategeezeza  nga bwebatamanyi ku Muntu byakola, era teyamaze kubeebuzaako.

Bwabadde ayogerako ne banamawulire  e Najjanakumbi Sarah Aperu  nga ono yakulira  abakyala mu FDC agambye nti omukulu ono teyategeezeza kibiina ku ntekateeka zino , kale nga byakola byonna bibye  yabimanyi.