Amawulire

Gen Katumba Wamala akyaliddeko omubaka Zaake mu ddwaliro

Ivan Ssenabulya

October 2nd, 2017

No comments

Bya Joseph Kato

Eyali omuddumizi we gye lye gwanga, minister omubeezi owebyentambula Gen Katumba Wamala akyaliddeko omubaka owa munispaali eye Mityana Francis Zaake, gwagambibwa nti yakuba.

Okusinziira ku taata womubaka Zake nga ye Emmanuel Mutebi, Gen Katumba asabye byonna ebyaliwo mu palamenti obutabawula, era obutasattulula nkolagana wakati waabwe.

Okusinziira ku katambi, akakwatibwa munda mu palamenti, Gen Katumba yalabwako nga balwanagana nomubaka Zaake oluvanyuma lwa spiika Rebecca Kadaga okugoba ababaka abagambibwa nti bebatabangula palamenti.

Okuva olwo omubaka Zaake ali mu ddwaliro e Rubaga.

Wabula bweyabadde awayaamu naba NTV, Gen Wamala yegaanye okukuba Zaake, ngalumiriza abamawulire okuseesa mu nsonga eno.