Amawulire

Gen Kale Kayihura ayimbuddwa ku kakalu ka Kooti.

Gen Kale Kayihura ayimbuddwa ku kakalu ka Kooti.

Ivan Ssenabulya

August 28th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah.

Kyadaaki Kooti y’amajjje ekirizza eyali ssabapolisi we gwanga General kale Kayihura okweyimirirwa, oluvanyuma lw’okumala ebanga lya myezi 2 nga asibiddwa awatali kwewozaako.

Ono mukuteewa ssentebe wa kooti eno  Gen Andrew Gutti amusabye akakalu ka kooti ka bukadde 10 ezitabade zaabuliwo, amugaanye okutambula okubuuka ensalo nga tamaze kufuna lukusa, songa newano mu Uganda talina kubuuka Kampala ne wakiso.

Mungeri yemu ono alina okweyanjula eri kooti buli lwa Monday,olusooka mu mwezi awatali kwebuzabuza

Guno gubadde mulundi gwakubiri nga ono alabikako mu kooti eno, nga n’ogwasooka lwali lwakutaano lwa sabiiti ewedde lweyasomerwa emisango okwali okulemwa okukuuma eby’okulwanyisa, okuwa abantu abakyamu eby’okulwanyisa, ko n’okuyambako okuwamba banansi ba Rwanda okubazza ewaka.

Ono ensonga zeeyesigamyeko nga asaba okweyimirirwa kuliko okuba nti  mulwadde, songa yemuntu yeka alabirira ab’omumakaage

Abamweyimiridde kuliko Major Gen James Mugira ne Major Gen Sam Kavuma.