Amawulire

Gen Elly Tumwine afudde kirwadde kya Kookolo

Gen Elly Tumwine afudde kirwadde kya Kookolo

Ivan Ssenabulya

August 25th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa ne Mike Sebalu,

Omukulembeze w’eggwanga YK Museveni akungubagidde musajja we Gen Elly Tumwine afudde enkya leero mu dwaliro LYA Aghakhan e Nairobi.

Gen Elly Tuwmine 68, General ow’amayinja 4, awerezza mu bifo eby’enjawulo okuva Government eno lweyjja mu bukulembeze.

Government ebadde tenavvayo na kiwandiiko kitongole kibika Gen Tumwiine wabula ng’abamu ku bakungu ba Government bbo batandise okuweereza obubaka obw’okusaasire eri eggwanga, ab’amaka ge  wamu n’e emikwano.

Okusinziira ku President, Gen Tumwine gwayise mulwanyi munne, afudde ekilwadde kya Cancer w’amawugwe essawa bwezibadde ziwera 5:46 ez’okumakya mu kibuga Nairobi.

Mu kiwandiiko President kyafulumizza, ategeezezza nga bweyasomesa Gen Tumwine mu mwaka gwa 1967 e Burunga Primary School nga mikseera kino President yali musomesa akyali mu tendekero ali mu kugezesebwa.

Omugenzi amwogeddeko ng’omusajja abadde omukozi ennyo eyamwegattako ne banne abalala abali eyo mu 9000 mu mwaka gwa 1979.

ate yye Ssabaminisita Robinah Nabbanja ayogedde ku mugenzi nga abadde mwoyo gwangwa, owamazima  ate aomukuumi wóbudde.