Amawulire

Gavumenti esaze ebbeeyi y’amasanyalaze

Ali Mivule

January 14th, 2014

No comments

power lines

Bannayuganda bakufuna akamwenyumwenyu ku matama oluvanyuma lwa gavumenti okusala ku bbeeyi ya masanyalaze.

Kati aga waka omuntu wakusasula 520.4 okuva  524.5  nga ate bbo abagakozesa emirimu bakusasula 474.7 okuva ku 487.6.

Bwabadde alangirira enkyukakyuka zino minista omubeezi ow’ebyamasanyalaze  Peter Lokeris agamba gavumenti era ekyateekateeka kukola ku nsonga ziviriddeko ebbeeyi y’amasanyalaze okwekanama naddala okusasula bannanyini kampuni ezibunyisa amasanyaze basobole okwongera amanyi mu mulimu gwabwe.

Minista era ategezezza nga gavumenti bw’ekoze kino okutuukiriza manifesito ya NRM okulaba nga buli Muntu ayota amasanyalaze ku bbeeyi esoboka.