Amawulire

Gavumenti z’ebitundu zilabuddwa ku nkwatamu y’ensimbi

Gavumenti z’ebitundu zilabuddwa ku nkwatamu y’ensimbi

Ivan Ssenabulya

April 11th, 2023

No comments

Bya Ritah Kemigisa. Minister w’ebyensimbi Matia Kasaija asabye abakulembeze bazi gavumenti ez’ebitundu obutadibuuda nsimbi zibawereddwa kubanga gavumenti ennaku zino ensimbi zigyekubya mpi.

Kasaija agamba nti government mu kiseera kino terina sente ate ng’ebyetaago byeyongera buli olukya.

Kasaija abadde ayanukula ku bizibu ebiviiriddeko okutambula akasoobo kw’emilimu gya gavumenti mu bitundu by’omubyaalo.

Bino webijidde nga n’ezimu ku nsimbi ezibadde ziyambako okuteeka emilimu gino mu nkola okugeza nga eza DDEG zajjidwamu okutandika n’embalirira ey’omwaka ogujja 2023/24