Amawulire

Gavumenti yeyamye okuwagira eddwaliro lya Kokolo

Gavumenti yeyamye okuwagira eddwaliro lya Kokolo

Ivan Ssenabulya

November 29th, 2021

No comments

Bya Ndhaye Moses

Gavumenti essubizza okwongera okuteeka ebikozesebwa mu ddwaliro lya kokolo erya Uganda Cancer Institute (UCI).

Ebimu ku bitunuliddwa bagala okwongera ku muwendo gwebyuma ebikalirira abalwadde, okuva ku kimu ekiriwo.

Obweyamu buno bukoleddwa, minisita omubeezi owobujanjabi obusokerwako Margate Muhanga ngagambye nti obwetaavu webuli, kubanga abantu abasoba mu mitwalo 4 mu 4,000 okuva mu mawanga ga East Africa bebanoonya obujanjabi ku ddwaliro lino.

Minisita okwogera bino, abadde akwasibwa ekifo ekyadabiriziddwa ekigenda okutuuza abantu 150 ku ddwaliro lya kokolo e Mulago, ngomulimu gwakoleddwa ku buyambi bwa DFCU.