Amawulire

Gavumenti yeeganye eby’okulwisa Zaake  okugenda e Bunayira.

Gavumenti yeeganye eby’okulwisa Zaake okugenda e Bunayira.

Ivan Ssenabulya

September 4th, 2018

No comments

Bya Damali Mukhaye.

Ministry ekola ku by’obulamu yesamudde ebibadde bigambibwa nti olukiiko olukola by’obujanjabi olwa Medical board lwalwiissa okukiriza ababaka ba parliament Robert Kyagulanyi ne Francis Zaake okugende e bunayira.

Bwabadde ayogerako ne banamawulire wano ku Media center minister akola ku by’obulamu Dr Jane Ruth Achenge agambye nti kubabaka bano bonna mpaawo yawandiika ebaluwa nga ayagala abasawo ba government okwekebejja abantu bano basobole okugenda e bunayira okwekebejjebwa.

Ono agambye nti amateeka galaga nti omuntu yenna okugenda e bunayira okujanjabibwa nebwaaba yaagenda okwesasulira alina okuyita mu mitendera gino, kale nga kino tekyali kyanjawulo ku Francis zaake.

Minister agamba nti mukusooka Zaake abasawo abaamukolako tebaali bakugu mu byagamba ebyali bimuluma, kale kyali kyamakulu okumutwala mu  bakugu ba government okumwekebejja

Wabula ono agambye nti Zaake ye kenyini yasooka nagaana okumukwatako, okutuusa munamateekawe Nicholas Opio bweyamukirizisa nakeberebwa abasawo e Mulago, kale nga y’ensonga lwaki ali bunayira ajanjabbwa.

Ono agambye nti amakulu mukino kwebutaswaza basawo ba Uganda, naddala singa omuntu atuuka mu mawanga amalala, wabula nga tewali alipoota yonna eraga bulwadde bumuluma.