Amawulire

Gavumenti yedizza omulimu gw’okukebera covid-19 okw’obuwaze

Gavumenti yedizza omulimu gw’okukebera covid-19 okw’obuwaze

Ivan Ssenabulya

September 15th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Gavumenti yedizza omulimu gwokukebera abantu okwobuwaze, ekirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Kino gavumenti egenda kukikola ku basabaze bonna abayingira egwanga ku kisaawe Entebbe.

Bwabadde ayogera ne bannamawuire ku media centre mu Kampala, minisita wamwulire ebyuma bi kalimagezi nokulungamya egwanga Dr Chris Baryomunsi agambye nti kino kyayisddwa olukiiko lwb minisita.

Agambye nti buli abayingira egwanga ku nsalo wonna, okutandikira ku kisaawe kyennyonyi baakukeberwa, wabulanga abalina visa zabalambuzi bakubakeberanga bagende muzi woteeri, alizaaiti zaakubasangeyo.

Dr Baryomunsi agambye nti emirimu gyokubere assenyiga omukambwe gyezze mu mikono gya gavumenti.

Okukeberwa kuno bakwesasauliranga $ 30 mu bank ssi 65.

Enkyukakyuka zino zigenda kutandika okukola mu wiiki emu.