Amawulire

Gavumenti yedizza Mountains of the Moon Univasite

Gavumenti yedizza Mountains of the Moon Univasite

Ivan Ssenabulya

September 8th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Palamenti eyisizza ekiteeso okuva mu gavumenti, gavumenti okutwala ettendekero lya Mountains of the Moon University, okulizza mu mikono gyayo.

Ekiteeso kino kyaleteddwa, minisita avunayizibwa ku byenjigiriza ebya wagguliu John Chrysostom Muyingo nga yagambye nti kyagendereddwamu okutekawo omwenkano mu byenjigiriza bya Uganda.

Ekiteeso kino kiwagiddwa, ababaka okubadde Sheema South, Elijah Mushemeza.

Wabula omubaka wa Bukooli Central Solomon Silwany nowa munisipaali ye Bugiri Asuman Basalirwa bawakanyizza ekiteeso kino, nga bagambye nti okusaba kwa Busoga University kwekwali kwasooka.

Mu mwaka gwa 2017, abaddukanya univasite eno, ettendekero eribadde eryobwananyini baasaba gavumenti eritwale okuliddukanya.

Mu mwaka ogwaddako ogwa 2018, omukulembeze wegwanga Yoweri Museveni yalagira minisitule yebyenjigiriza okwediza univasite ya Mountains of the Moon ne Busoga University.