Amawulire

Gavumenti yasasula akawumbi 1 n’okusoba mu bakozi ab’empewo

Gavumenti yasasula akawumbi 1 n’okusoba mu bakozi ab’empewo

Ivan Ssenabulya

February 3rd, 2022

No comments

Bya Ndhaye Moses

Ssababalirizi webitabo bya gavumenti ategezezza nga gavumenti bweyafiirwa ensimbi akawumbi 1 n’obukadde 200 mu kusasaula abakozi 600 abempewo muzi gavumenti ezebitundu.

Kino kyabikuddwa Edward Akol, akolanga amyuka Ssababalirizi webitabo bya gavumenti bweyabadde awaayo alaipoota eya 2021 eri amyuka Sipiika Anita Among ku palamenti.

Akol yagambye nti bataganjula olukalala lwa gavumenti kwesasulira emisaala nebazuula nga gavumenti yasasanya obwesedde 2 nobuwmbi 200 mu 2020/21 nayenga mwetobekamu obukumpanya.

Obuwmbi 7 nobukadde 300 zakozesebwa okusasaula omusolo gwa Pay as You Earn nayenga tezatuula mu kitongole ekiwooza ekya URA.

Gavumenti ezebitundu 78 zaasasula akawumbi 1 nobukadde 120 eri abakozi 635 mu bukyamu, ngabamu baawummula, abalala bakyusibwa, abebulankanya nabaafa.

Bino byonna byakwekenenyezebwa palamenti enonyereza ku vulugu omulala mu alipoota eno.