Amawulire

Gavumenti yakuwera abasawo b’ekinnansi

Ali Mivule

January 15th, 2015

No comments

withcraft one

Minisitule ekola ku kikula ly’abantu egamba nti etandise kawefube w’okuwera abasawo b’ekinnansi nga abe Tanzania bwebakoze

Akakiiko ka palamenti akakola ku nsonag z’ekikula ky’abantu egamba nti kino kyekyokka ekijja okuyambako okukendeeza omuze gw’okusaddaaka abaana

Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku kikula ky’abantu, minisita Rukia Nakadama asabye ababaka okubawagira mu kulwanyisa abasawuzi abavaako okutta abaana.

Ono wabula agamba nti okuwera abasawo bano okubawera tekimala kyokka bingi ebirina okukolebwa okulwanyisa omuze gw’okusaddaaka