Amawulire

Gavumenti yakuleeta etteeka ku baana mu masomero

Ivan Ssenabulya

May 10th, 2018

No comments

Bya Moses Ndaye

Gavumenti yakutongoza enkola oba etteeka erikwata ku byobulamu nensomesa yabaana, kyebatuumye school health policy.

Lino lyakulambulula ku ndiisa yabaana ku masomero, okubagemanga nokubananjaba ate nebikwata ku baana abawala abali mu nnaku zaabwe.

Okusinziira ku Rosette Nanyanzi, omunonyereza mu ministry yebyenjigiriza nemizannyo, etteeka libaddewo nga lisigadde kukaksibwa ministry.

Etteela kino kitegezeddwa nti ligenda kutongozebwa olunnaku lwenkya.

Bino webijidde ngebitongole byobwnakayewa bizze biraga obwetaavu obwe tteeka ku nsomesa yabaana, nokutekawo ebikozesebwa eri abaana abawala abalwadde mu nnaku zaabwe.

Obutabaawo bisabika eri abaana kibadde kyogerwako nti kyongera ku muwendo gwabaana abwanduka mu masomero.