Amawulire

Gavumenti yakugula ekidyeri ekisala omugga Kagera.

Gavumenti yakugula ekidyeri ekisala omugga Kagera.

Ivan Ssenabulya

October 10th, 2018

No comments

Bya Samuel Ssebuliba.

Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni akakasiza nga government bwegenda okugula ekidyeri ekigenda okugatta ekitundu kya Uganda n’amaserengeta ga Tanzania nga kiyita kumugga Kagera.

Bweyabadde ayogera ku mikolo egy’okukuza ameefuga ge gwanga wano e Kyotera , president yagambye nti aludde nga asuubiza abantu beeno okubagondeza mu by’entambula, kale nga kino asazeewo kituukirire mu mwaka gw’ebyensimbi guno ogujja.

Ono kati alagidde minisitule  ekola ku by’entambula okukola entegeka ekidyeri kino eky’obuwumbi obusoba mu 12 kigulibwe mu bwangu dala.