Amawulire

Gavumenti ya Uganda okukolagana no’bukulembeze bwa South Africa obugya

Ivan Ssenabulya

February 15th, 2018

No comments

Bya Sam Ssebuliba ne Damalie Mukhaye

Gavumenti ya kuno esubizza okukolagana nobukulembeze bwe gwanga lya South Africa obugya, oluvanyuma lwokulira kwa Jacob Zuma.

Bwabadde ayogerako naffe minister omubeezi owensonga ze bweru Henry Okello Oryem ategezeza nti gavumenti ya Uganda yakuteeka ekitibwa mu kusalawo kwekibiina ekiri mu buyinza mu gwanga eryo ekya ANC

Agamba nti kyebatunuliidde kwekunyweza enkolagana ebaddewo era egende mu maaso.

Zzo entekateeka zigenda mu maaso okulayiza abadde omumyuka wa Zuma, Cyril Ramaphosa kubwa president.

Ekibiina kya Democratic Party kivudeyo nekiyozayoza abadde omukulembeze w’egwanga lya south Africa Jacob Zuma okuvaayo mu lwatu n’ategeeza banansi b’eggwanga lye nga bw’alekulidde obukulembeze mu mirembe.

Omwogezi w’ekibiina Kenneth Paul Kakande abadde awayamu nabamawulire, nagamba nti kibi omukulembeze yena okweremezanga mu buyinza nga Zuma kyakoze kibe kigwana kibeere ky’akulabirako eri buli mukulembeze.

 

Omwogezi wekibiina kya DP Kenneth P. Kakande, olumaze ebyo nakubagiza egwanga lya Zimbabwe olw’okuvibwako abadde akulira oludda oluvuganya gavumenti Morgan Tshangalai.

Ono amwogeddeko ngomulwanyirizi w’eddembe kayingo era empaji luwaga mu by’obufuzi by’eggwanga eryo.

Kakande agambye Tshangalai alesse omukululo mu by’obufuzi bya Zimbabwe.