Amawulire

Gavumenti ez’ebitundu zitandise okukola obulungi.

Ivan Ssenabulya

June 27th, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba.

Yafesi ya  ssabaminisita leero efulumizza alipoota ekwata kunkola ya governmet ez’ebitundu 2017-2018, nga eno eraze nga   bano bwebatandise okukola obulungi kubikwatagana ne mbalirira.

Okunonyereza kuno kwakolebwa mu government ez’ebitundu 144 kwezo 162  nga kuno kwekuli districts  ne  munisipali , nga bano okusinga baatunulidde ensonga ezikwata ku by’obulamu, eby’enjigiriza, amazzi nebirara.

Kunsonga ezigatta government ez’ebitundu zafunyeewo obubonero 56%, nga bano okusinga  batubulidde nkwata ya nsimbi,mu by’enjigiriiza zaafunyeewo obunonero  56% ku by’obulamu zafunyeewo  53%,  songa kumazzi bafunyeewo obubonero 59%.

Twogedeko n’omuwandiisi ow’enkalakalira mu office ya ssabaminister Joel Wanjala  nagamba nti district eyasinze ye Butambala , ate  Ngora nesemba, songa mu bibuga Masindi yesinze okukola obulugi ate  Kumi  nesembe