Amawulire

Gavumenti eweze ebigezo bya Mock

Gavumenti eweze ebigezo bya Mock

Ivan Ssenabulya

January 17th, 2022

No comments

Bya Damali Mukhaye

Minisitule yebyenjigiriza nemizannyo eweze ebigezo bya mock nebirala ebye bweru mu masomero.

Kino kitegeeza nti abayizi mu secondary ne primary, batekeddwa kukola bigezo bya UNEB byokka ebyokwegezesa.

Minisitule era eweze nebigezo ebitandika olusoma oba eginning of term, amasomero galagiddwa gakozese obudde obwo okusomesa, okuziba omuwatwa olwebbanga amasomero lyegamala nga maggale.

Abayizi bajja kukola bigezo byokka ebisembayo.

Omwogezi wa minisitule yebyenjigiriza nemizannyo Dr Denis Mugimba akakasizza ebiragiro bino, ngagambye nti bazzudde amasomero gatwala obudde bungi okugezesa abayizi ate ebabasomesa kitono.