Amawulire

Gavumenti ewabuddwa ku ky’okusolooza abantu abaavu.

Ivan Ssenabulya

June 22nd, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba.

Government esabiddwa okutandika okufaayo kunkola ey’okwongera ku nsimbi eziri munsawo z’abanna- Uganda nga tenalowooza ku kyakubasolooza.

Bino bigidde mukadde nga bannayuganda bakyali mukweralirikira olwa bujeti eyakayisibwa eyazze n’emisolo egitagambika .

Kati bwabadde eyogerara mu kukubaganya ebirowoozo ku bujeti  y’egwanga eyakayisibwa, nga kuno kutegekeddwa aba civil society budget advocacy group, Ricahed Ssewakiryanga nga ono yakulira NGO forum agambye nti bannayuganda  baavu ebitagambika, kale nga okubasaako omusolo omulala kuba kubakamula.

Kati ono agamba nti okukendeeza ku kulumwa kw’abannayuganda nga basolozebwa, government egwana okusaawo embeera egenda okubayamba okwaaza ku nsimbi, kino kibayambe okusigazaawo ku nusu nga bamaze okusolozebwa.