Amawulire

Gavumenti esabiddwa okubudabuda abaana bejja ku nguddo.

Ivan Ssenabulya

July 2nd, 2018

No comments

Bya Samuel ssebuliba.

Gavumenti esabiddwa  okufaayo okubudabuda abaana bejja ku nguudo, sosi kubasuula busuuzi eyo mu maka agakuuma abaana abatalina mwasirizi.

Bino bigidde mukadde nga Minisitule ekola ku by’abaana yatedewo olwaleero nga nsalesale okulaba omwana yenna kunguudo, era nga bangi bayoleddwa.

Twogedeko ne ssentebe w’akakiiko ka palamenti  akakola ku by’abaana Bernard Atiku, naagamba nti okujja obwana buno kunguudo tekimala kubanga beetaga okukyusa endowooza bafuuke bannayuganda  abalungi.

Kati  ono agamba nti govumenti  egwana okuvaayo n’enkola enungamu ey’okubudabudamu abaana bano , sosi kubayoola buyoozi