Amawulire

Gavumenti esabiddwa ku byokwerinda

Ivan Ssenabulya

March 2nd, 2018

No comments

Bya Sam Ssebuliba

Gavumenti esabiddwa mungeri eyobwangu okukola ku butakanya ne ndoliito eziri wakati webitongole ebikuuma ddembe mu gwanga.

Kino kijidde mu kadde, ngomuwala Suzan Magara eyali yawambibwa yazuliddwa nga yattibwa ekyalese nga kiwawaza egwanga.

Okusinziira ku akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Winnie Kiiza, tewali kukwatagana wakati wa poliisi nabekitongole ekikessi aba CMI.

Kati agamba okwerumaruma nga kuno kwakowngera okuletawo ebzizibu bingi atenga abantu babulijjo bebakosebwa.

Kinajjukirwa nti gyebuvuddeko presidenti Museveni yategeeza nti enkayana ziri wakati wabantu abali mu bitongole bino ssi bitongole byenyini.