Amawulire

Gavumenti esaanye okujjuza ebifo byabasomesa ebikalu

Gavumenti esaanye okujjuza ebifo byabasomesa ebikalu

Ivan Ssenabulya

October 10th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Abakulu bamasomero basabye gavumenti, ekole entekateeka eyenjawulo okujuzo ebifo byabasomesa ebikalu nga bukyali.

Bino webijidde ngamasomero gali mu ntekateeka okuggulawo, mu January ku ntandikwa yomwaka 2022.

Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni yalagira yalagira amsomero gagulewo mu January atenga aba Univasite namatendekero amalala aga wagagulu bigenda kuddamu okusomesa nga 1 Novemba 2021.

Ssentebbe owekibiina ekigatta amasomero agaobwananyini mu gwanga, National Private Education Institutions Association nga ye Hasadu Kirabira agambye nti abasmesa bangi abaafa abalala omulimu baguvaamu mu kiseera ekya ssenyiga omukambwe.

Gavumenti agambye nti gavumenti tesaanye kubalaata nokuniina, naye etandike nga bukyali ku ntekateeka okujjuza ebifo ebikalu okuziba omuwaatwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *