Amawulire
Gavumenti erabudde abasomesa abediimye
Bya Benjamin Jumbe
Gavumenti ekawangumudde nti tewali nsimbi abasomesa, zebabanja, era babalagidde baddeyo ku mirmu.
Abasomesa balangirira akediimo ku Bbalaza, nga babanja gavumenti ebongeze omusaala gweyabasubiza, nokuwera nti tebagenda kusomesa ngolusoma oluppya lutandise.
Kati bwabadde ayogera ne banamawulire ku media centre, minister omubeezi owabakozi David Karubanga agambye nti wewaayo bewaddeyo okutukiriza byebasubiza absomesa, naye ensimbi teziriiwo.
Agambye nti obuwumbi 63 zezigenda okukola ku misaala gyabakozi mu kitundu ekisooka, wabulanga obuwumbi 49 zigenda kudda mu byanjigiriza.