Amawulire

Gavumenti entaangazza kubya ssente zirudde ku akawunta

Gavumenti entaangazza kubya ssente zirudde ku akawunta

Ivan Ssenabulya

September 22nd, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Gavumenti evuddeyo okutangaaza ku byogerwa nti gavumenti eyagala kutwala ssente zabantu, ezitudde ku akawunta okumala ebbanga neku Mobile Money ku masimu.

Gavumenti egamba nti tebalina kigendererwa kyonna kutwala ssente zabantu mu mbeera eno.

Minisita webyensimbi Matia Kasaija ayogedde ne bannamwulire ku nsonga yazi akwunta eziriko ssente nayenga zitutte ebbanga nga tezikozesebwa, nagamba nti Banka enkulu baakugoberera etteeka lyebyensimbi erya Financial Institutions Act (FIA) 2004.

Mu teeka lino gavumenti esobola okutwala ssente zino mu bbanka yegwanga enkulu, wabula ziba zisobola okudizbwa bannayini zo, abatuufu oluvanyuma.

Mu tteeka lino ssente bwezituula ku accounta mu banka emyaka 2, ngakawunta tezeeemu kutekebwako ndala oba okujjayo, banka emanyisa nnayini zo mu buwandiike ku kukyusa ssente zino.

Oluvanyuma lwemyaka 3 akawunta eno erangibwa mu mawulire e ssente nebazijjulula okuzizza mu banka yegwanga enkulu, mu nsawo enzibizi nga wayise emyaka 5.

Okusinziira ku alipoota ya banka yegwanga enkulu eya 2020, Decemba weyatukira ng’akawunta za Mobile Money obuwumbi 10 n’obukadde 900 z’ezitudde.