Amawulire

Gavumenti enasisinkana abasomesa

Ali Mivule

January 14th, 2015

No comments

Teachers strike

Minisitule y’ebyensimbi yakusisinkanamu abasomesa okumalawo okusika omugwa ku nsimbi za Sacco ezabaweebwa omukulembeze w’eggwanga.

Minisitule eno n’abasomesa bali ku mbiranye olw’obuwumbi 25 ezaweebwa abasomesa pulezidenti Museveni wabula nga kati ekibiina ekiwozi ky’ensimbi ekya micro-finance support centre kyekizirinako obuvunanyizibwa ekiwakanyizibwa abasomesa.

Minisita omubeezi avunanyizibwa ku bibina ebiwozi by’ensimbi  Caroline Okao Amali agamba ssente zino baali tebasobola ziteeka mu mikono gyakibiina kigatta basomesa mu ggwanga kubanga ssibonna nti ba memba mu kyo.

Ono agamba okukukaayana tekugaa nga ekyetagisa kutuula wansi bateese ku kyebagenda okukola okumalawo okusika omugwa.

Gyebuvuddeko abasomesa baaweze obutalinya mu kibiina okujjako nga bafunye ensimbi zaabwe.