Amawulire

Gavumenti ekonaganye ku Sejusa

Ali Mivule

October 3rd, 2013

No comments

Sejusa

Ng’ensonga za Gen David Sejusa` zikyalinya enkandago , nate obujulizi obuleetebwa mu kakiiko akamubuulirizaako bwongedde okukonagana.

Akawungeezi akayise minista  omubeezi akola ku by’okwerinda Jeje Odong yategeezezza nga  Sejusa bw’akyakulira ekitongole ekikessi mu ggwanga  , kyokka ate bino byonna minisita akola ku  butebenkevu Muluuli Mukasa abisaabuludde, bw’ategeezeza nti ono  bbo tebakyamumanyi

Muruuli  ategeezeza nti wofiisi ya ssejusa baagiggala dda era ne beyali akola nabo nebaddizibwaayo  mu magye ga UPDF kale nga okumuyita ssabakesi obeera omuwaayidde.

Wabula yye minister akola ku nsonga z’obwa president Frank Tumwebaze bw’ayingidde mu kakiiko n’ategeeza nga yye bweyali tamanyi nti Sejusa yadduka mu ggwanga

Ono agambye nti tasisinkanangako Sejus abukyanga afuuka minista ng’ebyokusibamu ebyanguwa byonna yabisoma mu mawulire

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *