Amawulire

Gavumenti ekakasizza kampuni endala okusima amafuta ga Uganda

Gavumenti ekakasizza kampuni endala okusima amafuta ga Uganda

Ivan Ssenabulya

May 11th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Minister avunanyizibwa ku mafuta n’obuggga obw’ensibo Ruth Nanakbirwa, leero asuubirwa kukwasa kampni ya M/s DGR Energy Turaco Uganda SMC Limited olukusa olubakkiriza okusima kuno amafuta.

Mu ngeri yemu, Minister wakuteeka emikono ku nzikiriziganya ne kampuni ya M/s Armour Energy Uganda Ltd okusima amafuta okuva mu kitundu ky’e Kanywata Contract area.

Okusizniira ku Minister Nankabirwa, bino byonna bikolebwa besigama mu kawayiro namba 58 aketeeka elivunanyizibwa kusimibwa kw’amafuta mu gwanga elya Petroleum (Exploration, Development and Production) Act 2013.

Nankabirwa agamba nti okuwa kampuni zino lukusa kitegeeza nti baguddewo ekisinde eky’okubiri eky’okulaba nga bazza obujja olukusa lw’amakampuni agatuukiriza ebisanyizo by’okusima kuno amafuta nga muzino mulimu ezibadde ziggwako nga 28/05/2023.

Mu mwezi gw’omunaana omwaka 2016, government yafulumya zi license 8 nga zonna zakusima mafuta  eri amakampuni 2 okuva emitala w’amayanja.

Amakampuni gano kwaliko eya Bungereza eya Tullow Oil n’eya Bufaransa eya Total nga buli emu yamyaka 25.