Amawulire

Gavumenti ejulidde ku Odoki

Ali Mivule

August 7th, 2014

No comments

nyombi thembo

Ssabawolereza wa gavumenti Peter Nyombi ajulidde ensalawo ya kkooti ku ky’obutaddamu kulonda Benjamin Odoki ku bwa ssabalamuzi w’eggwanga

Munnamateeka wa gavumenti Wanyama Kodooli agamba nti ssibamativu n’ebyasalibwaawo kkooti nti Odoki tasobola kubeera ssabalamuzi olw’emyaka

Abalamuzi bana ku bataano aba kkooti etaputa ssemateeka basalawo nti Odoki yaweza dda emyaka 70 egyogerwaako abakozi ba gavumenti okuwummula kale nga tasobola ate kumenya ssemateeka

Wabula ssabawolereza wa gavumenti agamba nti emyaka tegisobola kwesigamizibwaako kugaana Muntu kuwereeza ggwanga era nga kino bagenda kukiwakanya.