Amawulire

Gavumenti egwana ebangewo ensawo okuyamba abaana babatemuddwa

Ivan Ssenabulya

May 23rd, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Gavumenti esabiddwa okubangawo ensawo okuwagira family zabantu abazze bawambibwa nokutibwa mu gwanga.

Guno gwemulanga ogwakubiddwa abenganda naddala ababkyala abattiddwa, mu kusaba okubaddewo akakungeezi akayise okwategekeddwa abekiwayi kyabakyala mu kibiina kya Forum for Democratic Change.

Abenganda baategezeza nti batubidde anabaena ba mulekwa nga kyenkana balemereddwa okubasomesa nokubaliisa, nga betaaga gavumenti okubakwatizaako.

Wabula yye President wa FDC Patrick Amuriat Oboi aneneya gavumenti olwokukuuma emirembe mu mawanga amalala, songa okwayo erabika eremererddwa okukuuma banansi.

Binowebijidde ngomukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga yatadde gavumenti ku nninga okunyonyola banansi nokubagumya, era biki ebikoleddwa okumalawo obunenke bwekiwama nekitta abantu.