Amawulire

Gavumenti egobye amaato amatono ku Nnyanja Nalubaale

Gavumenti egobye amaato amatono ku Nnyanja Nalubaale

Ivan Ssenabulya

September 17th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Gavumenti eragidde amaato amatono, agali wansi wa fuuti 28 gave ku nnyanja Nalubaale, okutandika nolunnaku lwenkya.

Ekiragiro kino, yeemu ku ntekateeka gavumenti mweyise okulwanyisa envuba embi.

Bwabadde ayogera ne bannamwulire mu Kampala ku mbeera yenyanja nengeri ebyenyanja bwebikendedde minisita omubeezi atwala ebyobuvubi Helen Adoa agambye nti bonna abanasangibwa ku Nnyanja baakukwatibwa bavunanibwe mu kooti ya Buganda.

Kati agambye nti ssinga abavubi banalemererwa okugoberera ebiragiro ebifulumye, gavumenti enaaba esigadde kuggalawo emirimu gyonna ku Nnyanja mu Decemba ku nkomerero yomwaka 2021.

Tom Mukasa omukungu okuva mu minisitule yebyobulimi, obuvubi nobulunzi, yanyonyodde mu Luganda

Ebibalo biraga nti wabaddeewo okudirirra mu byenyanja ebituuka muzi factory okuva ku ttani emitwalo 5 mu 7,400 nga bwegwali mu 2019 okudda ku ttani  emitwalo 3 mu 400 mu mwaka oguwedde 2020.

Kino kyekivuddeko amakolero agamu okutandika okuggalawo, kubanga tegakyalaba ku byenyanja.