Amawulire

Gavumenti efunvubidde ku ky’okuwa banna Uganda emilimu mu kisaawe ky’amafuta

Gavumenti efunvubidde ku ky’okuwa banna Uganda emilimu mu kisaawe ky’amafuta

Ivan Ssenabulya

April 28th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Minisita avunanyizibwa ku masanyalaze n’obugagga obw’ensibo Ruth Nakabirwa ayongedde okukaka nga gavumenti bwegenda okwongera okuteeka essira ku by’okuwa amakampuni ga banna Uganda emilimu nago okusobola okuganyurwa mu nteekateeka z’amafuta.

Guno gumu ku mikisa emingi egitunuuliddwa okusitula enkulakulana y’eggwanga n’amakampuni ga banna Uganda nga genyigira mu kuwaayo ebyetaagisa mu kisaawe ky’amafuta omuli ebintu ebikalu wamu n’obuweereza obw’ekikugu.

Nankabirwa agamba nti ebintu ebisinze okutunuulirwa mu mbeera eno kuliko okusomesa banna Uganda obukugu obwetaagisa, enkozesa y’eby’amaguzi ebifulumizibwa kuno n’ebilala.

Abadde wali Kansanga ku International University of East Africa (IUEA) awategekeddwa omwoleso ogukwata ku mafuta ne gas ogusookedde ddala nga guno gugenda kukulungula ennaku 2 nambilira.

Omwoleso guno gutegekeddwa wansi w’omulamwa ogukwata kusabuukulula amasomo n’emikisa gy’okutendekekebwa mu kisaawe ky’amafuta ne gas.

Ekigenderwa ekikulu kwekuleeta ku meeza bonna abali mu kisaawe ky’amafuta okuli abakozesa, nga amakampuni, amatendekero agasomesa eby’amafuta ne gas, abakola amateeka n’abalala ku meeza bagabane bwiino akawata ku kisaawe kino n’ekigendererwa eky’okutondawo emilimu, okubangurwa n’okukuza ebitone mu kisaawe eky’amafuta.