Amawulire

Gavumenti bagiwadde Mt of the Moon University

Gavumenti bagiwadde Mt of the Moon University

Ivan Ssenabulya

January 13th, 2022

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Gavumenti egamba nti emalirizza entekateeka zokutwala ettedekero lya Mt of the Moon University, oluvanyuma lwokuteeka emikono ku ndagaano nabalitandika.

Bwabadde ayogerera ku mukolo ogwokuteekako emikono, ogubadde ku minisitule yebyenjigiriza nemizannyo minisita owebyenjigiriza ebya waggulu John Muyingo agambye nti buli kimu bakimalirizza.

Minisita agambye nti Ssabawolereza wa gavumenti yasigadde okwawula ettendekero lino, ngerimu ku matendekero ga gavumenti saako ebiwandiiko ebiralala ebigoberera.

Emirimu gyebyenjigiriza nokusomesa, kigenda kutandika mu butongole mu July womwaka guno.

Ssentebbe owolukiiko olwa waggulu olubadde lugiddukanya Tom Butiime, agambye nti benyumiriza mu bikoleddwa nga bawaddeyo ettendekeo lino mu mikono gya gavumenti, awatali mabanja gonna gebalese nebirala.