Amawulire

Gavument yakujulira ku bya Lukwago

Ali Mivule

March 29th, 2014

No comments

Tumwebaze fresg

Minisita wa Kampala Frank Tumwebaze avuddemu omwasi ku nsalawo ya kooti eyimiriza okulonda kwa loodimeeya.

Omulamuzi Lydia Mugambe olunaku lw’eggulo yayimirizza akakiiko k’ebyokulonda okutegeka akalulu kano kubanga ekibuga kikyalina loodimeeya.

Kooti era yalagidde minister wa Kampala Frank Tumwebaze, ne polisi obutaddamu kugaana Lukwago okugenda mu offiisi ye.

Kati minisita Frank Tumwebaze agambye nti bo bawakanya ensalawo ya kooti era bakujulira mu kooti esingawo.

Tumwebaze agambye nti omulamuzi teyabawadde mukisa kwewozaako wamu nokubuuza ebibuuzo abo ababadde babavunana.

Wabula ko akakiiko kebyokulonda kategezeza nga bwekagenda okuteeka mu nkola ekiragiro kya kooti.

Wabula Omwogezi w’akakiiko Jotham Talemwa agambye tebanafuna kiwandiiko kyona okuva mu kooti kunsonga eno.