Amawulire

Gavt zámawanga ga Africa zisabiddwa okukalulanya ebyentambula yényonyi

Gavt zámawanga ga Africa zisabiddwa okukalulanya ebyentambula yényonyi

Ivan Ssenabulya

November 20th, 2023

No comments

Bya Moses Ndaye,

Ekibiina omwegatira abali mu byentambula yenyonyi mu Africa ki African Airline Association kisabye bamemba bakyo okuzimba ebisaawe ebyomulembe ne bigenderako ku lwenkulakulana ye byentambula eyomubbanga.

Amyuka akulira ekibiina kya International Air Transport Association mu Africa ne mu Middle East, Kam Al Awadhi ategezeza nti gavumenti zámawanga tezifudeyo kulakulanya byentambula yenyonyi songa bagyamu omusolo.

Okwogera bino asinzidde mu lukungana olwomulundi ogwa 55 ogwe kibiina omwegatira abali mu byentambula ye nyonyi mu Africa olutudde e Munyonyo, Kampala.

Nga ayogerera ku mukolo gwe gumu minisita avunanyizibwa ku byentambula General Katumba Wamala alaze obwetaavu obwa zi-gavumenti za mawanga mu Africa okwongera okwetanira etambula eyomubbanga kuba etumbula ebyensubuzi.