Amawulire

Gavt yeyamye okwongera okuwagira omwana owóbuwala

Gavt yeyamye okwongera okuwagira omwana owóbuwala

Ivan Ssenabulya

October 11th, 2023

No comments

Bya Barbara Anyait,

Gavumenti yeyamye okwongera okussa ssente mu pulojekiti z’ebyenjigiriza ezigendereddwamu okutumbula abaana abawala n’okubawa emikisa gy’okuyigirizibwa emirimu gyo mitwe.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’omwana omuwala mu nsi yonna, minisita w’eggwanga ow’ensonga z’abavubuka n’abaana Sarah Mateke akubiriza abakyala abafuuse ekyokulabirako ekirungi mu bitundu byabwe okubuulirira  abaana abawala mu bintu ebyenjawulo nga babatuusako amagezi aganabayamba mu maaso.

Olunaku lwomwana owobuwala olwensi yonna lukuzibwa buli nga 11 October ne kigendererwa ekyokutumbula eddembe lyomwana owobuwala.

Olunaku luno lukuzibwa wansi womulamwa ogugamba nti tumanyise eddembe lyomwana omuwala, obukulembeze nóbulamu obulungi