Amawulire

Gavt yeyamye okuyisa enkola erungamya ku byémmere ne Ndya ennungi

Gavt yeyamye okuyisa enkola erungamya ku byémmere ne Ndya ennungi

Ivan Ssenabulya

September 30th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe, 

Minisita owa guno na guli mu yaffeesi ya ssabaminisita Justine Kasule Lumumba yeyamye okulaba nti enkola erungamya ku byemmere ne ndya ennungi eya national food and nutrition policy eyisibwa.

enkola eno elwisiddwa obukubagano obuliwo wakati wa ministry eye byenjigiriza ne ye byobulamu kwani alina okugiddukanya.

Bwabadde atongoza pulojekiti etumiddwa eddembe lyokukula ‘’Right to Grow’’mu Kampala, Lumumba agambye nti kitwala buwanana okuba nabantu abalya bulungi.

Ayongeddeko nti awatali kugonjoola ekizibu kyobutalya bulungi eggwanga terisobola kutukiriza birubirirwa byayo ebyenkulakulana.

Pulojekiti eno etambulira mu mawanga 5 aga bafirica ngewagirwa gavt ya budaaki.