Amawulire

Gavt yeyamye okukwasizako abalimi bébyényanja

Gavt yeyamye okukwasizako abalimi bébyényanja

Ivan Ssenabulya

November 26th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Gavumenti egamba emanyi bulungi emanyi bulungi ensonga eziruma ekitongole ky’ebyobuvubi era erimukusala magezi okulaba nga zigonjolwa.

Ebigambo byogeddwa pulezidenti Museveni mu mu bubaka bwatise ssabaminita Robinah Nabbanja mu kujjukira olunaku lw’ebyobuvubi mu nsi yonna mu disitulikiti y’e Serere.

Pulezidenti agamba nti ebyenyanja mu stock tebikyaliyo songa nokwetanira okulunda ebyenyanja kikyali kyakusomozebwa.

Agamba nti Gavumenti egenda kuwagira ebitundu by’abavubi n’ebikozesebwa kibasobozese okwenyigira mu kulunda ebyennyanja baleme kwesigama ku ku ebyo ebiterekebwa

Mu kiseera kye kimu omukiise w’ekibiina ekivunaanyizibwa ku by’emmere n’ebyobulimi mu ggwanga Antonio Querido, yeeyama okuwagira okulaba nga wabaawo enkukulaakulana mu bulunzi bw’ebyennyanja.