Amawulire

Gavt yetegese okwaniriza ababundabunda okuva e Kenya

Gavt yetegese okwaniriza ababundabunda okuva e Kenya

Ivan Ssenabulya

August 8th, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu,

Gavumenti  yeteseteese ekimala okwaniriza abantu bonna abanabunda bunda  nga bava mu gwanga lya Kenya naddala singa okulonda mu gwanga elyo kunabeera nga kwabutabanguko.

Olunaku lw’enkya eggwanga lya Kenya bwelyengiria mu kulonda omukulembeze omujja oluvanyuma lw’ekisanja ky’omukulembeze aliko Uhuru Kenyatta okuggwako era ng’amateeka tegamukkirizza kuddamu kwesimbawo.

Okusinziira kakiiko k’eby’okulonda e Kenya, abalonzi abwandiise bali obukadde 22m era nga bonna basubirwa okukwetabamu.

Raila Odinga n’abadde omumyuka wa Kenyata William Ruto kwekuoli atunuliddwa okuwangula entebe eno.

Kati nga twogerako ne Minista Omubeezi avunanyizibwa ku nsonga z’amawanga ag’ebweru John Mulimba atubulidde nti okulonda kwa 2007 e Kenya kwawa Uganda eky’okuyiga nga yesonga lwaki baagadde ku mulundi guno babeeko nekyebakola wadde nga basuubira okulonda okwo kwakugweera mu mirembe.