Amawulire

Gavt yetaaga obuwumbi 120 okukola kunsimbi zábakadde

Gavt yetaaga obuwumbi 120 okukola kunsimbi zábakadde

Ivan Ssenabulya

May 5th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Minisitule evunanyizibwa ku kikula kyábantu yetaaga obuwmbi bwensimbi 120 okukola ku pulogulamu ya gavt eyokulabirira abakadde mu mwaka gwe byensimbi ogujja.

Ensimbi zino zisuubirwa okukola ku bakadde abasoba mu mitwalo 35

Gavumenti ngeyambibwako abagabi bóbuyambi yatandika pulogulamu mweweera abakadde abawezeza emyaka 80 nókudda waggulu emitwalo ebiri ne kitundu buli mwezi basobola okwetuusako ebimu ku byetaago mu bulamu obwabulijjo.

Bwabadde ayogerako ne bannamawulire mu kampala, avunanyizibwa ku ntekateeka eno, Stephen Kasaija agambye nti minisitule yakola embalirra ya buwumbi 120 okuwa abakadde emitwalo 35 mu 8420 nókusasula amabanja eri abalina okufuna kunsimbi zino naye nga babadde tebafuna.

Ono agamba nti ensimbi zino zetaagibwa kuba singa tezifunika kitegeeza abakadde abazirinze bayinza obutazifuna ne kivaako okwetuuma kwa mabanja.

Mungeri yemu, Kasaija ategezeza nga abagabi bóbuyambi mu pulogulamu eno bwe bagenda okukoma okubayamba mu mwezi ogwomukaaga omwaka guno nga kino kitegeeza nti ensimbi ezirina okulabirira abakadde bano kati zakuva munda mu ggwanga mwokka.