Amawulire

Gavt yakuwandiisa abasomesa abagya e 2000

Gavt yakuwandiisa abasomesa abagya e 2000

Ivan Ssenabulya

December 28th, 2022

No comments

Bya Jane Nafula,

Minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo eyolekedde okuwandiika abasomesa ba siniya nga 2000 mu mwaka omuggya.

Bino byogeddwa omwogezi wa minisitule eno Dr Dennis Mugimba ategeezeza nti abateekayo okusaba kwabwe ne bayita yintaviyu mu July bafuna ebbaluwa ezibakkakasa ku mirimu.

Dr Mugimba wabula agamba nti bano sibakutandika kukola mu January/ February wabula oluvanyuma lwokwekenenya obwetaavu webuli basindikibweyo.

Omuwandiisi omukulu ow’ekibiina ekigatta abasomesa mu ggwanga ekya Uganda National Teachers Union UNATU asanyukidde okuwandiika abasomesa abaggya wabula n’awa amagezi nti bagabanyizibwe kyenkanyi mu masomero gyebeetaagibwa okumalawo eddibu mu byenjigiriza bye ggwanga