Amawulire

Gavt eyongezaayo okuwandiisa ababooda mu kampala

Gavt eyongezaayo okuwandiisa ababooda mu kampala

Ivan Ssenabulya

July 7th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Gavumenti nga eyita mu minisitule yya kampala eyongezaayo okuwandiisa abagoba ba bodaboda mu kampala.

RCC we Rubaga  Anderson Burora yayasanguzizza bino nategeeza nga enteekateeka eno bwebadde erina nga 1 July wabula bagyongezzaayo okuwa ababodaboda omukisa okwongera okwewandiia na bapya bafune siteegi.

Mungeri yeemu Burora ategezezza nti nga okuwandiisa kuwedde teri wa bodaboda ajja kukkirizibwa kusimba pikipiki kumpi ne banka, geeti zamassomero, amalwaliro, tulansifooma, poliisi n;amasundiro gaamafuta.