Amawulire

Gavt eyagala kuleeta nnongosereza mu mateeka gékikula kyábantu

Gavt eyagala kuleeta nnongosereza mu mateeka gékikula kyábantu

Ivan Ssenabulya

September 17th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye, 

Gavumenti okuyita mu minisitule eye kikula kyábantu eyagala wabeewo enkyukyuka mu mateeka agasinga agakwata ku kikula ky’abantu ne kigendererwa eky’okuziba omuwatwa oguliwo.

Okusinzira ku minisita avunanyizibwa ku kikula ky’abantu n’obuwangwa, Peace Mutuuzo, amateeka ku nsonga ze kikula kya abantu agasinga makadde nyo nga getaaga okukolwamu enongosereza.

Mutuuzo anokodeyo ekya kooti mu bitundu awali omuze gwokukola abakyala mu mbugo naddala mu bitundu bye Karamoja, Sebei ne Tororo, okulemererwa okukola okulamula olwobutaba na bujjulizi bumala kulumika abakikoze

Bino abyogedde afundikira okulambula kwe mu bitundu bye Sebei ne karamoja ebikolwa ebyokukomola abakyala mu mbugo gyebizemu okukwata akati.