Amawulire

Gavt ewera siyakutiisibwa ku tteeka lyébisiyaga

Gavt ewera siyakutiisibwa ku tteeka lyébisiyaga

Ivan Ssenabulya

March 24th, 2023

No comments

Bya Musasi waffe,

Minisita Omubeezi akola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Henry Okello Oryem agamba nti Uganda siyakupondooka kunsalawo yaayo ku nsonga y’ebisiyaga wadde nga waliwo abatandise okwogera.

Okuva Palamenti lweyayisizza ebbango ku biyisiyaga, emikago mingi n’amawanga ag’abeeru gawuliddwa nga goolerera Uganda n’agamu negatuuka n’okutegeeza nga bwegenda okufiirwa olutalo mu kulwanyisa mukenenya wamu n’okufiirwa eby’obulambuzi.

Kato Okello Oryem agamba nti okusalawo kw’ababaka kwabadde kusalawo kwa banna Uganda okusaanye okusiibwamu ekitibwa.

Ono era ayagala amawanga g’abeeru okufaayo okussa nga ekitiibwa mu bwetwaze bw’amawanga g’abaduggavu n’okukomya okubakakatikako endowooza zaabwe.