Amawulire

Gavt ewakanyiza omusango gwa bannaddiini

Gavt ewakanyiza omusango gwa bannaddiini

Ivan Ssenabulya

November 10th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah, 

Ssabawaabi wa gavt awakanyiza omusango ogwatwalibwa mu kkooti abamu ku bannaddiini nábakkiriza nga bawakanya obukwakulizo gavt bweyateeka ku masinzizo olwekirwadde kya covid.

Mu kirayiro ekikubiddwa dayirekita owébyóbulamu mu minisitule eye byobulamu Dr. Henry Mwebesa, gavt ekakasa nti obukwakulizo buno bwaleetebwa kukuuma bannansi era nga buvunayizibwa bwa gavt okukikola.

Dr. Mwebesa agambye nti singa gavt teyasitukiramu nobukwakulizo buno embeera yali suse ebwomulamuzi

Okusinzira ku ssabawaabi wa gavt, omusango gwa bannaddiini gwadibizibwa bukya mukulembeze weggwanga yaddiriza ku bukwakulizo ku masinzizo nga kati abakkiriza bakkirizibwa mu makanisa.

Wabula bannaddiini nga bakulembedwamu Bishop Wisdom Peter Katumba owékanisa ya Charis Fellowship Ltd ne Imaam Bbaale Mohammed atwala omuzikiti gwa Masjid Taqwa e Kabowa mugombolola yé Rubaga Division bagamba nti kkooti erina okuwaliriza gavt okuteeka ekitiibwa mu ddembe lyókusinza.