Amawulire

Gavt etongozza Namba Puleeti za Digito

Gavt etongozza Namba Puleeti za Digito

Ivan Ssenabulya

November 1st, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Gavumenti ddaaki etongozza namba puleeti  z’ebidduka eza digito. (digital number plates).

Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Ministry y’eby’entambula Waiswa Bageya ategeezezza nga buli muntu alina ekidduka kati bwekijja omukakatako okufuna nemba plate ekika kino kuba yakubeera nyangu okuginoonya singa waliwo obwetaavu okwetoloola wonna mu gwanga.

Kawefube ono akulembeddwamu Ministry y’eby’entambula ngeri wamu n’ey’aby’okwerinda nga era yakwongera okunyweza ebyokwerinda kw’eggwanga.

Gavumenti yateeka omukono ku ndagaano ne kampuni ya Russua eya MS Joint Stock Company Global Security nga 23/07/2021 n’ekigendererwa eky’okuteekawo namba plate ekika kino n’okulaba nga bateekawo enkola enalondoola motoka eno wonna weeri ngekolera wansi w’etteeka erig=fuga ebidduka ku makubo elyomwaka ogwa 2023.