Amawulire

Gavt esoomoozezza amawanga ga Africa kuntambula yényonyi

Gavt esoomoozezza amawanga ga Africa kuntambula yényonyi

Ivan Ssenabulya

May 31st, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Gavumenti ya Uganda esoomoozezza amawanga ga Africa okukola ku kusoomoozebwa okuliwo kati mu kwetanira entambula y’ennyonyi.

Minisita w’emirimu n’entambula Gen Edward Katumba Wamala agamba nti kiruma okusinziira ku budde Omufirika bw’ayonoona okugenda e Bulaaya.

Yakkaatirizza obwetaavu bw’ennyonyi za Afrika okuleetawo okutambula mu ddembe okubuna ssemazinga ono n’ayongera okusaba wabeewo ekikolebwa ekyamangu okunogera eddagala ebisomooza entambula yomu bbanga.

Okwogera nga Uganda yeetegekera okukyaza olukungana tabamiruka olw’omulundi ogwa 55 olukwata ku ntambula yómubbanga olugenda okubawo nga 19 ne 21 November omwaka guno.